Essaza Kyaggwe (@essaza_kyaggwe) 's Twitter Profile
Essaza Kyaggwe

@essaza_kyaggwe

Tumanyiddwa nti tulina olubiri lwa Ggulu! Twakawangula engabo emirundi 3

ID: 1537739883263008771

linkhttps://sites.google.com/view/ebifaekyaggwe/ calendar_today17-06-2022 10:12:38

998 Tweet

1,1K Followers

672 Following

Buganda Kingdom (@bugandakingdom_) 's Twitter Profile Photo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde Wakiso mu Busiro okutongoza alipoota ya District y'e Wakiso ku mbeera y'eddembe ly'obuntu Omukolo guno gutegekeddwa ku kitebe kya Disitulikiti y'e Wakiso.

Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde Wakiso mu Busiro okutongoza alipoota ya District y'e Wakiso ku mbeera y'eddembe ly'obuntu

Omukolo guno gutegekeddwa ku kitebe kya Disitulikiti y'e Wakiso.
Essaza Kyaggwe (@essaza_kyaggwe) 's Twitter Profile Photo

Akulira Ekitongole ky'obulimi mu ssaza Kyaggwe omw. Lubega Philly akubirizza Bannakyaggwe abali mu bibuga okufuba okulaba nga bettanira okuyiga okulimira awafunda.

Ssekiboobo oweek. Vincent Matovu leero asisinkanye Ssentebe wa District ye Mukono era boogedde ku bintu bingi omubadde n'ettaka ly'ekitebe kya district. Ensisinkano eno ebadde ku mbuga y'Essaza enkya ya leero.

Essaza Kyaggwe (@essaza_kyaggwe) 's Twitter Profile Photo

Omumyuka owookubiri owa Ssekiboobo mw.Katende Fred Kangave yebazizza BannaKyaggwe olw'obumu bweboloseza eri ttimu y'Omupiira Kyaggwe Football Team n'obuwagizi, obuvujjirizi eri ttiimu y'Omupiira.Bino yabyogeredde mu nsisinkano na Bagoma b'ekibiina Kyaggwe Bagoma Group.

Joseph Kawuki (@josephkawuki_) 's Twitter Profile Photo

Olukiiko olw'ekenneenya enkola y'emirimu mu Masaza ga Buganda nga lukulemberwa Mw.Geoffrey Male Busuulwa era n'amyukibwa Dr. Geoffrey Sseruwu, lumalirizza emirimu ne lunkwasa ebyavudde mu kukebera emirimu. Neebazizza nnyo Olukiiko lwonna olw'obuwereza obulungi eri Obwakabaka