
SSAZA BUSIRO OFFICIAL
@ssazabusiro
Cultural Heritage, Beautiful Nature, the People and the Entebbe International Airport
ID: 1526544752807936000
17-05-2022 12:48:07
822 Tweet
1,1K Followers
437 Following


Ssebwana alambudde ekkolero ly'omutaka Vvule James Sserunjogi elisangibwa mu muluka Mut. V Buloba mu ggombolola lya Mumyuka Wakiso @BugandaOfficial Joseph Kawuki



Sebwana atuuziza Omwami w'omuluka gwa Mutuba V Buloba-Ssebaggala Charles Lule n'omumyuka we Ssalongo Kyambadde James wamu n'olukiiko lwabwe #BusirokuntikkoBugandakuntikko @BugandaOfficial Joseph Kawuki


Olukiiko olufuzi olw'eggombolola Ssabaddu Katabi lutudde olunaku olw'aleero. #BusirokuntikkoBugandakuntikko @BugandaOfficial Joseph Kawuki

Nga 1/12/2023, Sebwana yakulemberamu abavubuka okuva mu Busiro ne boolekera Bulemeezi ku mukolo gw'olunaku lwabavubuka mu Buganda. Mu bamu ku beetaba ku bikujjuko bino mwalimu Abaseesa Nsereko Ibrahim ne Namata Victoria @BugandaOfficial Joseph Kawuki



Sebwana n'Omulezi boolekede Busi okutuuza omwami ow'omuluka Mutuba l @BugandaOfficial Joseph Kawuki



Kkanso y'essaza esembye mu mwaka etudde leero. Mubaddemu omugenyi ow'enjawulo (Mukwaya Lawrence)ng'ono Kamisona mu Bwakabaka era y'alera essaza lya Buluuli. Atulungamizza mu nsonga ez'enjawulo naddala mu ntambuza y'emirimu. @BugandaOfficial Joseph Kawuki


Akulira eggombolola lya Mumyuka Wakiso (Mw. Archilles Mukiibi) yakiikiridde Sebwana mu kutuuza abaami b'omuluka Ssaabagabo B Kyampisi ogusangibwa mu ggombolola lya Mut. 111 Namayumba #BusirokuntikkoBugandakuntikko @BugandaOfficial Joseph Kawuki



Ow'omuluka wa Mut. 1 Kikajjo amaze okutuuzibwa n'okulayira #BusirokuntikkoBugandakuntikko @BugandaOfficial Joseph Kawuki


OBUWANGWA KYE KI? @BugandaOfficial Joseph Kawuki


Omumyuka wa Sebwana asooka atuuse mu muluka gwa Mut. V Buddo okukola omukolo gw'okutuuza ow'omuluka Musiige Moses n'omumyuka Ssenyonga Joachim @BugandaOfficial Joseph Kawuki


Omwami w'omuluka Mut. V Buddo n'omumyuka we batuuziddwa era nebalayira @BugandaOfficial Joseph Kawuki



Omutaka Semanobe 26 (Kizito Paul)yeetabye ku mukolo gw'okutuuza Omwami w'omuluka Mut.V Buddo. Abagambye nti obukulembeze bunyuma nnyo ng'owadde akusingako ekitiibwa, ng'omanyi w'okoma. Akubirizza abazadde okusomesa omwana omulenzi @BugandaOfficial Joseph Kawuki


Omumyuka wa Sebwana asooka mu kwogera kwe ng'ali e Buddo, yeebazizza enkolagana ne gavumenti ey'awakati. Abasabye bakole entegeka nga basinziira ku ntegeka y'essaza, bakole emirimu gyaabwe n'obwerufu, bakunge abantu, baleme kuswaza Bwakabaka @BugandaOfficial Joseph Kawuki
